Skip to content Skip to footer

Paapa ajja mu November

paapa 2

Ekelezia Katolika mu ggwanga egambye nti tenafuna kiwandiiko kitongole okuva e Vatican newankubadde ng’emukutu gy’amawulire egyenjawulo  gikakasiza okukyala kwa Paapa mu Uganda ne Central African Republic.

Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga agambye nti newankubadde amawulire ga ssanyu naye ekelezia teyinza kumala gagafulumya nga tenafuna lukusa okuva e Vatican.

Lwanga agambye nti bwebanafuna ekiwandiiko ekitongole, bakuyita olukungana lwa bannamawulire amangu ddala okutegeeza eggwanga

Paapa okukakasa kuno akukoze bwabadde adamu ekibuuzo  ekimubuziddwa omu ku basumba okuva mu Africa, mu lukungaana lw’ebukumi n’ebikumi by’abasumba okuva mu mawanga amaavu olubadde mu Basilica  ya st. John Lateran.

Papa era agambye nti bwekinaaba kisobose wakukyalako ne mu ggwanga lya Kenya.

Ono era ategezeza nti eyagala akyale mu mawanga gano ngateganaba kugenda mu kulonda ate nga ne Uganda eyagala kwetaba mu bikujjuko by’emyaka 50 bukya abajulizi balangirirwa mu lubu lwabesiimi.

Papa yali yategeeza dda nga bw’ayagala okukyala mu mu mawanga ga Africa omwaka oguwedde bweyali ava mu ggwanga lya Sri Lanka.

Leave a comment

0.0/5