Amawulire
Okubala- abadde abala akubiddwa, abalala bakwatiddwa
Poliisi e Bukomansimbi ekutte omusajja akubye omu ku babala abantu lwa kwogera na mukyala we
Vincent Dumba y’alumbye Sulaiman Ssezibwa.
SSezzibwa agamba nti Dumba amusanze ayogera ne mukyala we ng’amubuuza ebibuuzo wano n’atandikidde okuyomba n’okumubuuza lwaki abadde abala abantu be.
Amulagidde okuyuza by’abadde awandiise n’agaana eta bw’atyo n’amukwatira ejjambiya olwo musajja wattu n’adduka okutaasa obulamu bwe
SSentebe we ggombolola ye Kibinge Sowedi Serwadda bw’abuuziddwa lwaki abadde atta omuntu, agambye nti takakasizza Dumba by’amugambye era abadde alowooza nti ayagala kumubbira mukazi
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Noah Sserunjoji agamba nti omusajja ono agenda kuggulwaako misango gyakuyingirira nteekateeka za gavumenti
Ssentebe we Gombolola ddamba e Sironko akwatiddwa lwakufukuutirira nteekateeka ya kubala bantu
Patrick Boora ye ssentebe we Buteza ekisangibwa e sironko
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Diana Nandawula agamba nti omusajja ono akwatiddwa n’abalala bana okuli Isma Wanyaro, Emmanuel Wakasolo, Yoweri Wangoro ne Simon Wekoyo.
Nandawula agamba nti abakulu bano bagenda kuggulwaako misango gyakuyingirira nteekateeka za gavumneti ng’ekibonerezo kusibwa myezi mukaaga
Kyo ekitongole ekikola ku kubala abantu kigamba nti okujjako obumulumulu n ga buno, tebannafuna bizibu byamaanyi
Amyuka omwogezi w’ekitongole kino Rosemary Kisakye agamba nti abantu batono abagaanye okubabala
Kisakye agamba nti abantu baddamu bulungi ebibuuzo era nga mu maka webatasanga bantu basaako namba ssatu okulaga nti tebabaze
Bbo abanti babulijjo boogera byanjawulo ku nteekateeka eno
Abamu beesunga kubabala ate abalala beekengedde ebibuuzo ebiriwo