Amawulire
Akalulu k’ekikungo kakubwe ku bwa Loodimeeya
Omuloodi w’ekibuga Kampala ssalongo Erias Lukwago agambye nti kati ebizibu bya Kampala bisobola kumalibwaawo na kalulu ka kikungo.
Lukwago okwogera bino kiddiridde ebiyitingana nti minisita wa kampala Frank Tumwebaze ateekateeka kutwala kiteeso mu lukiiko lwa ba minista ekijjawo abakulembeze abalonde mu kampala.
Lukwago agambye nti minisita eyagala kukyuusa akawayiro namba mwenda mu tteeka lya KCCA, akawa bannakampala obuyinza okweyondera loodimeeya
Ono agambye nti kati bannakampala beebalina okukuba akalulu ak’ekikungo basalewo oba baagala abakulembeze abalonde oba nedda.
Ate waliwo ba Kansala mu KCCA abatandise okulumiriza banaabwe okufuna obukadde 25 okuva eri pulezidenti, okusobola okuwagira embalira ya KCCA.
Kansala wa Makindye West Allan Ssewanyana agambye ba Kansala era bawereddwa n’enkoko 3000, ng’akasiimo okuwagira ekya KCCA okukozesa obuwumbi 37 okugula akatale ka USAFI.
Wabula ye Kansala Bruhan Byaruhanga bino abiyise bya njwanjwa era n’alumiriza ba kansala abamu okwonoona amanya gambwe mu maaso g’abantu.
Kykka Byaruhanga akkiriza nti pulezidenti yabasuubiza obukoko 3000 buli omu okwekulakulanya.