Amawulire
Ebye Katosi Mukono bikyalanda
Eby’amancoolo mu kuzimba oluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi bikyalanda.
Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku by’okuzimba kaabuse mpaawo kituukiddwako oluvanyuma lwa minisita avunanyizibwa ku by’enguudo Abraham Byandala obutaba nabiwandiiko biraga engeri obuwumbi 24 gyebwaweebwayo eri abafere abeefuula aba kampuini enkozi y’enguudo okuva mu Amerika.
Omubaka wa Nakifuma, Eng Sekitoleeko Kafeero y’aleese ekiteeso okuggalawo enteeganya zino okutuusa nga Byandaala abalaze alipoota ku pulojekiti eno.
Kati ssentebe w’akakiiko kano Ephraim Ganshanga asazeewo okuiwandiikira minisita ono okudda ku lwokuna ne alipoota eno olwo abitebye.
Gyebuvuddeko kaliisoliiso wa gavumenti y’alagira abakungu ba minisitule y’ebyenguudo ab’okuntikko bonna bagobwe olw’okufiiriza gavumenti ssente zino.