Amawulire
Abalwanirira eddmebe ly’abaana sibamativu
Abalwanirira eddembe ly’abaana mu ggwanga baagala ebibonerezo ebikakali bibinikibwe kwaabo abasingisibwa ogw’okukukusa abaana.
Omulanga guno wegujidde nga abaana abakukusibwa okutwalibwa mu mawanga amalala beyongera buli lukya era gweralikiriza.
Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abaana ekya ANPPCAN Uganda chapter, Anslem Wandega, ategezezza nga omwaka oguwedde kitundu ku bantu 408 abaakukusibwa okutwalibwa ebweru w’eggwanga bwebaali abaana.
Agamba ekizibu ky’okukukusa abaana bwekiri ekinene okusinga nga abantu bwebakilowooza nga kale okukukusa abantu kufuuse buddu obw’omulembe guno, egimu ku misango kati ejiri ku mwanjo munsi yonna.
Etteeka ly’okukukusa abantu erya 2009 lyateekawo ekibonerezo kyakusibwa emyaka egitasukka myaka 15 eri gwegusinze.