Amawulire
Babiri battiddwa e Namayingo- abalala 18 bakwatiddwa
Ab’obuyinza mu disitulikiti y’e Namayingo bakutte abakulembeze b’enzikiriza ya Injiri 18 lwakutaataganya nteekateeka yakubala bantu.
Enzikiriza eno erudde nga yekiika mu nteekateeka za gavumenti nga yalemesa n’abagoberezi baayo okwewandiisa okufuna endagamuntu.
Omubaka wa pulwzidenti mu kitundu kino Mpimbaza Ashaka agamba bano bakwatiddwa nga bagaana abagoberezi baabwe okubalibwa nti kikolwa kya sitaani era baakugweera mu geyeena singa babalibwa.
Bano kati baakuvunanibwa mu mbuga z’amateeka.
Mukitundu kyekimu abantu 2 bebafiiridde mu bukuubagano wakati w’abavubi n’abatuuze.
Abavubi basse Musweri Tofa wabula nga bamulanga kuvubira w’attakirizibwa ,abatuuze nabo molw’obusunga nebabakyukira nebatta muvubi munaabwe Odongo Michel owokumwalo gwe Muloni.
Omubaka wa pulezidenti e Nmayingo Mpimbaza Ashaka agamba poliisi ebakanye n’ekikwekweto ky’okukwata abo bonna abaakoze effujjo.