Amawulire

Abatund afirimu bafunye bbeetu

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

artists mourn

Kkooti y’ebyobusuubuzi ewadde obuyinza abazanyi ba firimu okukwaata firimu zaabwe okuva eri abo abazitunda oluvanyuma lw’okuzookyamu mu bukyaamu.

Bano bazze bemulugunya nga bagamba bafiirizibwa byansusso olwabantu bano abooza mu mirimu gyaabwe nga baagala gavumenti eteeke munkola etteeka ly’ebiyiiye by’obwongo erya Copy right .

Omulamuzi Henry Peter Odonyi ategezezza nga bano ensonga yaabwe bwerimu eggumba wabula nga tebalina kukwata ku cinema z’abazungu nga bwebaabadde basabye

Bbo Abatunzi ba firimu wano mu kampala abasoba mu 50 bakedde kugumba ku kkooti eno nga okuwulira omusango guno kugenda maaso.

Bano nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe  Steven Mutundu baategezezza nga bwebatawakanya tteeka ly’ebiyiiye by’obwongo erya Copyright wabula nga bawakanya  eky’okuwera firimu eziva ebweru w’eggwanga .