Skip to content Skip to footer

Atemyetemye mukala we naye neyetuga

Bya Abubker Kirunda

Omusajja wa myaka 35 yetugidde mu nnyumba oluvanyuma lwokutta mukyala we.

Badru Malinzi omutuuze we Nasuti mu gombolola ye Nambale mu district ye Iganga yalese abatuuze mu kutya, bweyetuze oluvanyuma lwokutematema mukyala we.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi ategezeza nti batemezeddwako, abatuuze oluvanyuma lwokwekengeeza obudde bwebugenderedde nayenga tebaggulawo.

Mubi agambye nti emirambo jitwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Nakavule ngokunonyererza bwekugenda mu maaso.

Kati poliisi esabye abafumbo okuddukiranga ewaabwe, okugonjoola obutakanya bwebatera okufuna.

Leave a comment

0.0/5