Ebyobulamu
Abasawo mu by’endya balimba abantu
Abasawo mu byendya basaanye okussibwaako amateeka amakakali kubanga bangi babuzabuuza abantu
Mu Lukiiko olwegattiddwaamu abasawo abakola ku by’endya okuva mu mawanga ga East Africa, abakugu mu by’endya bagambye nti abasawo bangi tebalina bukugu mu byandya nga byebawa abantu ate biyinza okusajjula embeera
Akulira abakugu mu by’endya, Fredrick Kizito agamba nti tewali mateeka makakali ku basawo b’ekika kino nga buli omu atuula n’atandika akalwaliro n’abbira awo abantu
Awadde eky’okulabirako eky’abantu abanguyiriza okubisoma nti amata, enyama ne butto bibi eri obulamu bw’abantu ate nga ssi bwekiri
Dr. Kizito agamba nti emmere eno ssi mbi eri omuntu kasita aba nga tagiyitirizza
Ono ayagala wabeewo amateeka g’abasawo abakola ku by’endya nga geetongodde okulaba nti abanoonya ebyaabwe tebayingirira mulimu guno