Amawulire
South Sudan yefuludde- Teri kugoba bagwiira
Gavumenti y’eggwanga lya South Sudan yefuludde n’esazaamu ekiragiro ekigoba abagwiira bonna .
Minisita wa South Sudan akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Benjamin Barnaba Marial ategeezezza nga bwebatagenda kugoba mugwiira yenna kubanga baaniriza buli Muntu
Olunaku lwajjo gavumenti ya South Sudan yalangiridde nti egenda kugoba abagwiira bonna ekitagendedde bangu bulungi
Muno mwemubadde n’ababaka ba palamenti okubadde Geoffrey Ekanya, Peter Ogwang, Baker Ssali ne Wamanga Wamai abagamba nti South Sudan tennafuna buvumu bugoba bantu kubanga tesobola na kwetengerera