Bya Ndaye moses .
Akakiiko akakola ku nsonga z’ebyokulonda katadewo olwanga March 15th nga olunaku olw’okulonderako omubaka mu Jinja East okw’okudibwamu .
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Justice Simon Byabakama ategeezeza banamawulire nti okusunsulamu abagenda okuvuganya kwakubaawo nga 14th February wali ku kitebe kya district ye Jinja.
Ono agamba nti okutimba enkalala z’abalonzi kugenda kubaawo okuva nga 12th – 21st February okwetoloola ebifo byonna 47 omulonderwa, songa ye kakuyega wakutandika nga 19th February – 13 march.
Kinajukirwa nti ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma lwa kooti okusokoolayo omubaka eyali mukifo kino Igeme Nabeta nga ensonag zakubba kalulu.