Skip to content Skip to footer

Abaana 1,200 bebatikiddwa ku Buganda Royal insititute.

Bya shamim Nateebwa.

 

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayega akuutidde abaana aba Buganda Royal institute abattikiddwa nti tebageza  nebatinkiza olw’amabaluwa gebafunye, wabula bafube okuteeka munkula by’ebasomye olwo babeera bankizo eri abalala.

Bino katikiro ebyogeredde wano e Mengo bwabadde atikira abaana abasoba mu 1,200 abafunye amabaluwa gaabwe  okuli dipoloma ne certificate.

Katikiro bano abagambye nti buli kadde bagwana bayaayanire okuyiga ebipya mu bulamu bwabwe, sosi kulanama kubaanga baasomye.

Ono abagambye nti okubeera omuyiiya tekyetaagisa kubeera namukuku gw’abitabo, wabula kwewaayo nakuyayanira kuyiga bipya.

Leave a comment

0.0/5