Amawulire

Abagambibwa okuba abatujju bavunaaniddwa

Ali Mivule

September 24th, 2014

No comments

terrorists

Abateberezebwa okubeera abatujju abakwatbwa gyebuvudeko mu Kisenyi olwaleero basimbiddwa mu kkooti era nebasindikibwa ku alimanda

Bano batuusiddwa wakati mu bukuumi kasiggu ku kkooti enkulu olw’eggulo lwaleero.

Babadde 10 nga kuliko abasomali 9 ne munnakenya omu ategerekese nga Mohammed Yusuf Farah.

Ku ba somaali abasimbiddwa mu kkooti kuliko abakyala babiri nga ku bano kwekuli Yasmine Adrai aden ne Ahmed Hedan Dahil.

Bano bavunaaniddwa gwakukolagana na batujju na Alshabaab ne Alqueda n’ekigendererwa ky’okulumbisa Uganda.

Munnamateeka wa gavumenti Lilian Anguzo agambye nti bakyanonyereza ku bantu bano nga kati babasindise ku kitebe kya bambega e Kireka bongere okusoyebwa ebibuuzo.

Omulamuzi w’eddala erisooka mu kkooti ento eya Buganda Road, Simon Kintu kati abalagidde okudda mu kkooti nga musanvu omwezi ogujja