Amawulire

Buganda lwazi ssi Nva ndiirwa

Ali Mivule

September 25th, 2014

No comments

kats

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga agamba nti Buganda Lwazi, si nva ndiirwa nti ejja kuwotoka.

Kamalabyonna bino abyogedde ayogera eri abantu be saabagabo mu kufundikira okusolooza ettofaali.

Katikkiro agambye nti waliwo abantu abalemesa ettofaali nga balyogerera naye nga terivudde kati kubanga ne bajjajja ffe basaasulanga envujjo

Bino nno agamba nti tebijja kumuyigula ttama nga omulimu gwe kutereeza Buganda era nga kino kijja kutuukirira nga n’abantu bawagidde

Akinogaanyizza nti guno mulembe Mutebi ogw’okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda kyokka nga tetukijja kubaawo nga Masengere tewedde oba amasiro gonna agaba ssekabaka

Guno omulembe Omutebi gwa kuzaawo ekitiibwa kya Buganda