Bya Abubaker Kirunda.
Bwetutandikirako wano e Jinja tutegeezeddwa nga police bwesee abasajja 3 abateberzebwa okubeera abanyazi.
Bano okutibwa police ebazingiriizza wano e Masese e Walukuba nga bagenda okuteega abasubuzi be by’enyjanja
Ayogerera police yeeno Dianah Nandaula agambye nti bano babade batambulira mu motoka number No UAP 449S- police bwebasabye okuyimirira bagyeeyo muntu aasasi neganyooka.
Mukaseera kano emirambo gyabagenzi gitwaliddwa mu gwanika e Jinja, nga police bwekyayongera okunonyereza abalala ababadde mu lukwe.