Ebyobulamu
Olutalo ku sigala lutandise
Gavumenti mu ggwanga lya bufaransa eyanjizza enteekateeka y’omuggundu mw’egenda okuyita okulwanyisa omuze gw’okufuuweeta sigala
Bano bagenda kukaka abakola sigala okumussaako ebigambo beimulabula abamunywa n’okusomesa abavubuka
Mu ggwanga lya Bufaransa , abavubuka beebasinga okukozesa sigala era nga bangi ate bamufuuweetera mu kinyumu
Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga lya Bufaransa Marisol Touraine agamba nti bagenda kukoppa ebyakolebwa gavumenti ya Australia mu mwaka gwa 2012
Wabula kkampuni ezikola sigala zemulugunyizza dda ku kino nga bagamba nti byonna byakubalemesa