Embuto ezisoba mu 830 zezigibwamu wano mu ggwanga buli lunaku.
Amawulire gano agawuniikiriza gaasanguziddwa minisita w’eby’obulamu akola ku bujanjabi obusookerwako Sarah Opendi eyategezezza nga abakyaala 30% bwebafiira mu ssanya lwakukwakulamu mbuto ekibaviirako obuzibu.
Ono agamba kikwasa ennaku era n’asaba abantu okuwagira enkola za gavumenti ez’okutumbula enkola ya kizaala gumba.