Ebyobulamu
Abakyala bonna bakeberebwe kokoolo
Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga ayagala kifuuke kya buwaze abakyala okukuberebwa kokoolo wa nabaana.
Kadaga agamba nti eno y’engeri yokka ey’okulwanyisaamu ekirwadde kino.
Sipiika agamba nti abakyala bangi batuuka mu ddwaliro kikereezi gyebigweera nga tewali kya kutaasa.
Mu malwaliro ga gavumenti kokoolo ono akeberebwa bwereere kyokka nga mu malwaliro amalala abantu basasula
Abakyala 2,464 beebafa mu Uganda buli mwaka olwa kokoolo wa nabaana
Abalala enkumi ssatu mu bitaano bamufuna buli mwaka