Amawulire
Babakubye amasasi
Poliisi etandise okunonyereza ku bantu abatannaba kutegerekeka abalumbye abantu babiri nebabakuba amasasi ng’ensi eraba
Bino bibadde mu kitundu kye Rwizi Mbarara ng’atwala okunonyerezza Jackson Tumwine akakasizza amawulire gano
Abagenzi bategerekese nga Kasim Nsamba ne Saidat Nabukeera
Tumwine agamba nti ababiri bano babadde batudde mu mmotoka, omuntu n’abasasirira amasasi n’oluvanyuma n’adduka
Ab’enganda z’abagenzi bagambye nti Kasimu y’abadde avuga nga yakatuuka ewaka bw’ati n’alumbibwa
Okunonyereza kukyagenda mu maaso.