Nga obubenje bw’ongera okutirimbula abantu ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, poliisi kati esazeewo kuyimiriza emmotoka ku luguudo luno nga bwebasomesa abagoba baazo ku mateeka g’enguudo.
Kawefube ono atuumiddwa ddayo mu p1 nga era abagoba b’ebidduka bonna bayimirizibwa ku mabbali w’oluguudo mu kifo ky’okubakwata nebababangula.
Omwogezi wa poliisi mu gutundutundu gwa Katonga Phillip Mukasa agamba basomesa abagoba b’ebidduka bano obubonero bwokunguudo n’engeri y’okwewalamu obubenje.
Okusomesa kuno kutandikidde Mpigi nga era abagoba b’ebidduka abasoba mu 300 bebabadda bakaganyulwa mu nteekateeka eno egendera ddala okumala emyezi 2.