Amawanga ga Africa nga ne Uganda mwogitwalidde galabuddwa okwewala okwewolawola okuva mu bitongole by’ensimbi ebweru w’amawanga gano kubanga gyebujja amabanja gandibalemerera.
Nga aggulawo olukungaana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte olw’ebyobusuubuzi n’enkulakulana mu Africa, eyebuuzibwako mu byenkulakulana mu kibiina kino Lindan Ndolve ategezezza nti okugyako nga amagoba amawanga gano kwegewolera gasiddwa, Uganda amabanja gandigyavuwaza.
Okusinziira ku alipoota y’ekibiina kino amabanja g’amawanga ga Africa geyongedde okutuuka ku buwumbi 443 wakati wa 2011-2013 okuva ku buwumbi bwa doola 303 obwaliwo wakatio wa 2006-2009.
Ndolve agamba n’amabanja gano, amawanga ga Africa ssigakukomya kusabiriza mawanga gannaggwa edda okugabbulula kale nga amawanga gano gasanye okwefaako mu by’okusiga ensimbi.
Mu kiseera kino Uganda ebanjibwa obuwumbi bwa doola t 7.6 bwebukadde emitwalo nga ena n’ekitundu mu siringi yakuno.