Amawulire

Museveni agauddewo Omwoleso gwabannamakolero

Ali Mivule

October 3rd, 2014

No comments

 

UMA

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akunze  bannamakolereko okubeera abasaale mu kutumbula enkulakulalana mu ggwanga.

Museveni okwogera bino abadde aggulawo omwoleso gw’abannakolera wali  mu kibangirizi ky’abwe e Lugogo.

Museveni agambye nti gavumenti  yakwongera okulaba nga ebeeyi y’amasanyalaze eyongera okukka, okusobozeza bannamakolero okukola obulungi emirimu gyabwe.

Museveni era atendereza omugenzi James Mulwana olw’omulimu gweyakola okutumbula amakolero mu ggwanga.

Amakampuni agasoba mu 1300 gegolesezza ebyamaguzi okuva wano n’ebweru w’eggwanga.