Amawulire
Abagambibwa okuba abatujju baddiziddwaayo e Luzira
Abavunaanibwa ogw’obutujju 10 basindikiddwa ku alimanda e Luzira.
Bano balabiseeko maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Simon Kintu abasindise mu mere okutuusa nga 23 October.
Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Edward Muhumuza okutegeeza kkooti nga okunonyereza ku musango gw’abano bwekukyagenda maaso ku kitebe kya poliisi ekinonyereza ku misango e Kireka.
9 ku bano basomali nga kuliko abakyaala 2 ne munnakenya omu.
Bano bavunanibwa kyamba batujju ba Al-Shabab abaagala okutabangula emirembe.