Amawulire
Abayizi beekalakaasa lwa bigezo- omulala azirise
Abayizi abeekalakaasa bayingiridde ebigezo bya siniya y’okuna ebigenda mu maaso mu disitulikiti ye Lwengo
Abayizi abeekalakaasizza ba ssomero lya Modern High school Mbirizi ng’eno ebigezo biyimiriziddwa okumala ssaawa nnamba n’omusobyo
Abayizi aba siniya y’okuna beebalumbye banaabwe ababadde bakola ebigezo nga bagamba nti bbo babalese mabbali
Abayizi bagamba nti akulira essomero Najib Ssozi yabalagira okusasula shs omutwaalo gumu buli omu okutuula ekigezo kya Chemistry, Biology, ne physics kyokka nga baasasula ez’ebigezo
Poliisi ekkakkanya obujagalalo eyitiddwa okukkakkanya abayizi bano
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Noah Sserunjogi agamba nti abayizi 50 beebakwatiddwa nga bali ku poliisi ye Mbirizi.
Yye nnanyini ssomero Andrew Kanyankole agaanye okubaako ne ky’anyega ku nsonga eno
Ate e Buyende, omuyizi abadde mu kigezo azirise n’agwa eri nga yakatuula mu bigezo.
Lydia Nantoba muyizi ku ssomero lya Kidera SS erisangibwa e Buyende
Omwana ono assiddwa ku mabbali n’akolebwaako kyokka nga kiteberezebwa nti okutya ebigezo kwekubireese.