Amawulire
Eyassa ejirita mu bitundu by’omwana eby’ekyama afunye omwaka gumu
Kkooti e Masaka esibye omukyala eyasonseka obujirita mu mbugo z’omwana wa mujjawe owa wiiki 3 omwaka gumu gwokka.
Omulamuzi Mary Ikit y’akalize Stella Namuwonge ebbanga lino n’ategeeza nga obujulizi bwonna bwebumulumise kale nga asana kubeera mu kkomera.
Omulamuzi asinzidde ku alipoota y’omusawo Dr. Francis Ssenyonjo Kalevu eyategeeza kkooti nga bweyajja obujirita mu mbugo z’omwana ono ssaako n’obujulizi bwa Douglas Lutaaya eyategeeza nga bweyalaba omukyala ono mu maka ga Namaganda.
Yadde nga akuliddemu oludda oluwaabi James Opedun abadde asabye kkooti nakyaala ono aweebwe ekibonerezo ekikakali okwewazisa abakyaala abalala okukola kyekimu, omulamuzi agambye nti ono gwegusoose okuzza omusango guno nga ate y’alabirira abaana be kale n’amuwa ekibonerezo ekisaamussaamu.
Wabula yye maama w’omwana ono Lydia Namaganda ssimusanyufu n’ekibonerezo ekiweereddwa muggya we ng’agamba kitono bulala nga abadde asana ekisingawo.