Amawulire

Masaka yetaaga ssente kuzimba kitebe

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

masaka headquarter

Abakulembeze mu disitulikiti ye Masaka beetaga akawumbi kalamba okumaliriza ekitebe kya disitulikiti

Disitulikiti ye Masaka yadde yeemu ku zisinga obukulu mu ggwanga, terina kitebe oluvanyuma lwa Buganda okweddiza ebizimbe byaayo mweyali etuula

Omulimu gw’okuzimba gwatanidka mu mwaka gwa 2012 ku ttaka erisangibwa mu Kizungu kyokka nga buli kimu kyeesiba olw’ensimbi.

Ssentebe wa disitulikiti ye Masaka Joseph Kalungi agamba nti batandise kawefube w’okuyigga ensimbi buto okulaba nti omulimu guddamu okukwajja