Ebyobulamu
Obubaka ku mukenenya bukyuukemu
Abakulembeddemu olutalo ku mukenenya basabiddwa okukyuusa mu bubaka okutambula n’embeera z’abantu.
Akulira okutekerateekera essomero ly’ebyobulamu e Makerere prof. Fred Ssengoba agamba nti abantu bafuna ekirwadde kya mukenenya enkya n’eggulo kubanga ekikoleddwa kitono okuziyiza ekirwadde kino
Prof Ssengoba agamba nti mu kadde kano Uganda yeesibye bwegutuuka ku lutalo ku mukenenya kale ng’ekyamangu kirina okukolebwa
Agamba nti obubaka obutunuulidde embeera z’abantu busaanye okukolebwa okukendeeza ku muwendo gw’abantu abafuna mukenenya