Amawulire

asangiddwa ne muk’omusajja akubiddwa mbooko

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

man cained

E Buyende kkooti y’ekyaalo etanzizza omusajja kimeeme w’embuzi 3, ente 1 saako n’okumuswanyula embooko 12 lwakwenda ku muka muliraanwawe.

Magno santos y’akwatiddwa nga yekejja ne muka muliraanwa wabula poliisi nemutaasa ku batuuze ababadde bagala okumumiza omusu okukomya ejjoogo.

Nanyini Mukazi Abdul      Muwuma abanjizza omutwalo gweyasasula omukyaala ono okuva eri omusiguze nga agamba akwatiddwa alina siriimu.

 

wabula mukyalawe n’akawangamudde  nga omusiguze ono bwamalaka nga bba abadde amussa enyonta y’omukwano.

 

Nakyala ono Sarah Muwuma agamba bbawe ono abadde takyatukiriza nsonga zabufumbo, olwo bwalakasidde kko yye muliraanwa oliwa gyangu omponye oluyonta lw’omukwano era bigweredde mu musiri gwamwanyi.