Amawulire

Emisango gyakwanguwa

Ali Mivule

October 23rd, 2014

No comments

Justice

Ekitongole ekiramuzi kitongozezza enteekateeka z’okugaba amangu ebibonerezo eria bantu abakkiriza emisango.

Ekigendererwa kukola ku bantu mangu era baweebwe ebibonerezo okwewala okubaleka mu makomera nga tebawozesebwanga

Atwala abalamuzi, Yorokaamu Bamwine agamba nti era abantu abakkiriza emisango basalirwa ku bibonerezo kubanga baba tebatawanyizza kkooti

N’abantu ba bulikko bajja kukkirizibwanga okubaako byeboogera ku misango kiyambe abalamuzi okusalawo nga bamanyi gyebiva.

Ebibiina by’obwa nnakyeewa byebisinze okusanyukira kino nga bigamba nti kyakuyamba okwanguya obwenkanya

Enteekateeka yatongozebwa  Kampala, Jinja, Mpigi, Mubende, Entebbe ne Mbarara