Amawulire
Abaasaba emirimu gibabuze
Abantu abasoba mu 400 abasaaba emirimu mu KCCA tebagifunanga kati emyaka ebiri
Abasinga ku baasaba emirimu gino bakola ne yintavuyu , nebakakasibwa ne minisitule ekola ku nsonga z’abakozi nga bafuna amabaluwa mu mwaka 2012
Omu ku basaaba emirimu guno Abdul Njuki, agamba nti bamusindika mu ofiisi y’akulira abakozi Jennifer Musisi kyokka nga bweyagendayo bamugamba alindemu okutuuka lw’anayitibwa
Njuki agamba nti bweguli nekubalala nga bebuuza oba ddala emirimu gyabaweebwa
Ate nga bano bazze ku mabbali, ate waliwo ekibinja ekigamba nti kyammibwa emirimu oba olyaawo kubanga basiraamu era ng’ensonga bazitwaala kati mu kakiiko ka Uganda Muslim supreme council
Wabula omwogezi wa KCCA Peter Kaujju, agamba nti abaweebwa emirimu basoba mu 400 kyokka nga tebasobola kubatandisa kukola kukola kubanga tewali nsimbi.
Kawujju era awakanyizza ebigambibwa nti baliko beebasosola ng’agamba nti obuzibu bwonna ssente era abaweebwa emirimu tebasaanye kuggwaamu ssuubi.