
Omukyala etunze ente gyebamuwa wansi w’enkola y’okugaggawaza abantu asuze mu kaduukuulu
Maria Namuli mutuuze mu kibuga kye Kalungu mu disitulikiti ye Kalungu.
Namuli ategeezezza abakungu abalondoola abaafuna ente zino nti eyiye yagitunze kubanga abadde takyasobola kugirabirira.
Kino kinyizizza abalondoola abakulembeddwamu Maj Wanji Katongole era nebalagira akwatibwe.
Maj. Katongole agamba nti ebintu ng’ebisolo ebiweebwa abantu okwekulakulanya tebirina kutundibwa era abakikola bakuvunaanibwa