
Omuliro gukutte ekkolero ly’emwaanyi ku kyaalo Kisaaba e Kayunga ebintu bya bukadde nebisanaawo.
Ekkolero eriyidde ly’omu ku baggagga b’okukyalo Tonny Mugarura.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omuliro guno gukumiddwa omukazi omulalu asangiddwa emanju w’ekkolero lino
Bano era bagamba nti ekkolero teryandiweddewo naye tewabaddewo byuma birwanyisa muliro ate nga ne poliisi eruddewo okutuuka.
Poliisi emaze okukwata omukyala ono omulalu okuyambako mu kunonyereza