
Okusunsulamu abayizi abagenda okuyingira S.5 kutandise leero, era nga abaana emitwalo 31 beebatunuulidwa.
Agavaayo galaze nga obubonero obwe essalira busigadde bwebumu n’obw’omwaka oguwedde
Amasomero nga Mbarara high school tegatwala bayizi bayita ku bubonero 21, Gayaza high school ekomye ku 12, Immaculate Heart SS bakomye ku bubonero 22, ssonga Kigezi ekomye ku buonero 31 eri abawala ate abalenzi bakomye 29
St Peters Nsambya ekomye ku bubonero 25 Gombe SS ekomye ku23 , ssonga ggo amasomero aga Bishops e Mukono gasabye obubonero 22 ku balenzi n’abawala
Omuwandiisi w’essomero erya Gayaza high school Febbie Namubiru atutegeezezza nti abaana abatafunye bifo mu masomero gebayita amanene tebasaana kugwaamu maanyi, bagezeeko ewalala