Amawulire

Bbomu zizzeemu e Nigeria

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Nigeria bom

Bbomu ebalukidde ku paaka ya baaso mu kibuga Gombe ekya Nigeria esse abantu bana n’okulumya abalala 32.

Ab’obuyinza mu ddwaliro lye Gombe erikola ku balumiziddwa gamba nti omuwendo guno gweyongera buli lukya ate nga bbo ababaddewo bagamba nti emmotoka 13 zeezisanyeewo mu muliro.

Poliisi egamba nti bbomu zino zibadde mu baasi era ng’abantu basatu bamaze okukwatibwa.

Ekibuga ky’egomba kigabana ensalo n’ebibuga ebirala bisatu ebirimu ennyo bannalukalala ba Bokoharam.