Amawulire
Omubbi w’enkoko atuyaanye
E Rakai Abasajja 2 bawonye okugajambulwa abatuuze lwakubba nkoko omu n’awayo n’amakage awone akaduukulu.
Joseph Ssegawa ne Martin Sseruwuge bonna nga batuuze ku kyalo Lusese bebawonye okugajambulwa oluvanyuma lw’okusamgibwa n’eminyonyi gino egiteberezebwa okuba emibbe.
Kigambibwa nti bano baamenye ekiyumba kya mukyaala Annet Namatovu eky’enkoko nebabbamu enkoko 7 ekyamuwalirizza okwekubira enduulu mu baliraanwa abaatandise omuyigo nebagwa ku bano nga bakaalakaala n’enkoko zino nga 6 baazisanze mu maka ga ssegawa.
Abatuuze batandikiddewo okumukuba emigoba nte olw’obulumi n’alonkoma Sseruwuge naye gwebaalumbye nebamukuba mizibu nga babalumiriza nti babbi balulango.
Oluvanyuma Ssegawa alajanye bamusonyiwa n’asuubiza okuwayo amakage eri Namatovu ayagala okuliyirirwa nga alumiriza nga bwebazze bamubbako enkoko ze bukyanga mwaka gutandika.
Ssegawa aweereddwa emyezi 2 okwamuka amaka ge n’ekibanja biweebwe nanyini nkoko aleme kutwalibwa ku poliisi.