Amawulire

Abantu b’omutanda banajjanjabwa

Ali Mivule

November 4th, 2014

No comments

Kabaka welcomed best

Ab’ebyobulamu abali eyo  mu 80 bebayunguddwa  okujanjaba abantu ba beene nga twetegekera olunaku lw’ebyobulamu olutegekeddwa nga 29 November.

Kino kibukuddwa ssentebe w’akakiiko akateesiteesi ak’olunaku luno Dr Musisi olugenda okubeera mu ssaza lya ssabasajja erye Buddu mu lukungaana olukubiriziddwa omwogezi w’essaza lino Dick Lukyamuzi Ssenyondo.

Dr Musisi agamba enteekateeka eno yakukulungula wiiki namba nga abantu ba beene bajanjabibwa okuva nga 22-29 November.

Agamba baakukuba enkambi ezenjawulo emu e Kalisizo mu tawuni ye Rakai ate endala e Lwengo okusobozesa n’abantu abali mu masoso g’ebyalo okuganyulwa mu nteekateka eno.

Ssabasajja Kabaka wa Buganda  Ronald Muwenda Mutebi ii asuubirwa okubeera omugenyi omukulu ku mikolo egigenda okubeera e Masaka.