Bya George Muzoora
Omuvubuka ow’emyaka 16 ekyuma kya sukaali kimugaayizza yenna n’asigala bulere ku kkolero lya Kinyara
Daniel Daniel Odoch nga muyizi ku ssomero lya Kinyara high school mu Budongo mu disitulikiti ye Masindi abadde akolera ku kkolero lya sukaali lino nga anoonya fiizi wabula kuluno ekyuma kyamulobye nekimugaaya nga ebikajjo.
Omwogezi w’ekkolero lya Kinyara Kirunda Magoola akakasizza okufa kwa Odoch n’ategeeza nti kunyolwa ddala.
Ebibiina by’abakozi bizzenga bivumirira eky’okukozesa abaana abatanetuuka naddala mu kulima ebikajjo nga aba kinyara byonna bazze babyegaaana nga balumiriza ba kontlakaita okukola kino.