Amawulire

Eby’amakomera biranze- babegaanye

Ali Mivule

November 13th, 2014

No comments

Prisons graduation

Ensonga z’abakuumi mu makomera abatasaasulwa zikyalanda

Olwaleero ab’amakomera bakomyeewo mu palamenti okunyonyola lwaki tebasasula bantu baabwe yadde nga tebagobwangako.

Akulira amakomera  Johnson Byabashaija bino abiwakanyizza ng’agamba nti ssi kituufu era abantu bano tebabanja

Aboogerwaako baali bakuumi e Kasese nga bali mu 250 nga bategeezezza  palamenti bagoobwa ku mirimu kyokka nebataweebwa bbaluwa zibagoba ate nga tebasasulwa musaala

Byabashaija agamba bakunonyereza okulaba engeri abantu bano gyebafunamu yunifoomu z’amakomera kubanga tebabawangako mirimu.