Amawulire

Ekikwekweto ku balya enguzi kiyodde

Ali Mivule

November 17th, 2014

No comments

 

traffic officer

Ekiwendo ky’okukwata abaserikale ba poliisi ab’okunguudo abajja ensimbi ku bagoba b’ebidduka kyakanyweza 9.

Poliisi yatekewo ekibinja ky’abantu baayo  abalondoola abatulafiki bano  abagufudde omulimu okusaba ekyojja mumiro okuva eri badereeva naddala abo bebakwatira mu nsobi nga ate balina kubawa bibapupa okusasula engassi.

Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga  Dr.Steven Kasiima ategezezza nga bano bwebakwatiddwa okuva e Kawanda , Nsangi, Zanna, Buloba ne matugga.

 

Ategezezza nga bano bwebakwatiddwa lubona nga bajja ensimbi ku badereeva nga era baakusimbibwa maaso g’akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa babitebye.