
Eddwaliro ekkulu erye Mulago lyakuggalawo ekiseera ekigere omwezi ogujja okusobozesa okuddabiriza okugenda mu maaso.
Omwogezi w’eddwaliro lino Enoch Kusaasira ategezezza nga ebifo ewajanjabibwa kookolo abaana n’ewa Magumba bwebigenda okukosebwa.
Kusaasira agamba obujanjabi obumu bwakujira nga butwalibwa mu ddwaliro ly’e Naguru, Kiruddu ne Kawempe.
Okuddabiriza kw’eddwaliro lino okw’obukadde bwa doola 49 kwatandika mu October wa 2014 .