Pulezidenti Museveni agamba nti eyli ssabaminisita Amama Mbabazi talina buwagizi mu NRM era ssi y’addukanya ekibiina nga yye bw’alowooza
Ng’ayogerako eri bannamawulire ng’afundikira olugenda lwe e Teso, Pulezidenti agambye nti kino Mbabazi by’ayogera tebisoboka
Agambye nti Mbabazi yeeyali kyeankana afuga ekibiina weyabeerera ssabawandiisi waakyo ne ssabaminista kyokka nga bino byonna byaggwaawo okuva lweyayabulira ekibiina
Mu ngeri yeemu era pulezidenti ayanukudde ku Nsonga za Tamale Mirundi n’ategeeza nti yawulirako nti ono avuma abantu kale nga akakiiko bwekaba kaamukomyeeko kabaadde kakola mulimu gwaako.
Bw’atuuse ku nsonga ya ba RDC, Museveni agambye nti tasobola kukwatagana na Besigye ng’agamba nti yali asaaga
Besigye agamba nti ba RDC tebetaagisa era nga ne Pulezidenti yamukkiririzaamu juuzi bweyali awenja akalulu.