Amawulire
Abayizi be Nkumba beekalakaasizza
Poliisi e Entebbe ekutte abayizi 12 ab’ettendekero lya Nkumba lwakukulemberamu kwekalakaasa enkya ya leero.
Abayizi ku ttendekero lino bakedde kuva mu mbeera ng’obuzibu bwonna kuva ku kwongeza nsimbi za kuddamu bigezo omuyizi by’aba agudde okuva ku mitwalo 10 okudda ku 20 ate nga ssinga omuyizi asubwa ebigezo aasula emitwalo 10 okuva ku mitwalo 2.
Aduumira poliisi mu bitundu bya Entebbe, Godfrey Ninsiima agamba nti embeera ezze mu nteeko yadde ng’ebintu by’ettendekero ebiwere byonoonoddwa
Anyonyodde nti abaddukanya ettendero babawadde amagezi okukwatagana nabakulembeze b’abayizi okwewala okulwana