Skip to content Skip to footer

Ebyo’kutunda amasanga babiwakanyizza

Bya Ndaye Moses

Ekibiina kya Wildlife conversation Society, kivuddeyo okuwakanya ne ssekuwakana yenna okuteesa kwababaka ba palamenti, gavumenti okutunda amasanga gonna agazze gakwatibwa, nti gatundibwe.

Ssenkulu wekitongole kino Simon Takozekibi agambye nti amasanga mu kaseera kano agakumibwa, aba Uganda revenue Authority, police naba Uganda wildlife Authority gatekeddwa okwokebwa, kubanga gavumenti ekozesa ensimbi nnyingi, okugakuuma.

Agambye nti okugatunda ate kyakowngera ku misango egyokuyigga nokumenya amateeka gomu ttale, kubanga kinaaba kifuuse byabusubuzi.

Ababaka baali bawabudde nti amasanga gano gatundibwe okujjamu ensimbi, okuyamba ku mirimu.

Leave a comment

0.0/5