Skip to content Skip to footer

Eyakubye omusabaze asindikiddwa ku alimanda

Bya Ruth Anderah

Omugoba wa boda boda olukaali lumuzalide akabasa.

Ono asindikiddwa mu kkomera e Luzira ku bigambibwa nti yakubye omusabaze we ebikonde.

Opolot Simon asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisoka Patrick Talisuna wabula neyegaana omusango.

Kigambibwa nti Opolot nga mutuuze mu Kisenyi mu Kampala, nga March 6th 2018 mu Mulimira zone e Bukoto mu bumenyi bwa’amateeka yawumiza Nandudu Florenceebikonde namutusaako ebisago ebyamanyi.

Kati wakudizibwa mu kkooti nga May 17th 2018 omusango gwe gutandike okuwulirwa.

Leave a comment

0.0/5