Amawulire

poliisi etabukidde aba 4AC

Ali Mivule

November 18th, 2014

No comments

BBBB

Wabaddewo akavuvungano nga poliisi eremesa bannakisinde kya 4GC okuyingira munda mu kitebe  ky’e ggwanga lya Congo e Kololo nga baagala okukwanga omubaka wa Congo kuno ekiwandiiko ekibanja okutangazibwa ku kukwatibwa kwa munna FDC Sam Mugumya.

Bano bakulembeddwamu omukwanaganya w’ekisinde kino Mathias Mpuuga nga era kuliko n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye, omuloodi wa Kampala  Erias Lukwago ne Meeya wa Kawempe  Mubarak Munyagwa.

Banno bawakanya okukwatibwa kwa Mugumya nga ono muyambi wa Dr Kiiza Bersigye mungeri etategekekeka.

Mugumya y’akwatibwa wiiki 2 eziyise nga amaggye ga UPDF gagamba yakwatibwa mu bikolwa by’ekiyekera sso nga yyo gavumenti ya Congo egamba baamukwata kuyingira ggwanga mu bukyamu.

Bano era baagala Visa Zibatwala Kinsasha ku lunaku olwokuna okulaba nga omuntu waabwe ayimbulwa.

omudumizi wa poliisi mu buvanjuba bwa Kampala Siraj Bakaleke y’alinye eggere mu nteekateeka za bano.