Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akubidde enkambi ya Uganda Cranes essimu e Morocco era n’abazzamu amaanyi.
pulezidenti awadde omutendesi wa Cranes Micho Sredejovic ku bukodyo bw’okuwangula omupiira gwebagenda okuzannya n’eggwanga lya Guinea olunaku olwenkya era n’abawa amagezi obutazanyira ku puleesa okusobola okumegga Guinea.
Yye kapiteeni wa Cranes Andy Mwesigwa ategezezza nga bwebagenda okufiirawo okumegga Guinea okusobola okwesogga empaka za Africa mu Equatorial Guinea..
Cranes bali mu kifo kyakubiri ku bubonero 7 emabega wa Ghana erina obubonero 8 nga era yetaaga kugwa maliri okwesogga eza Africa omwaka ogujja.