Amawulire
Abatembeeyi bakusasula eziwera
Abatembeeyi abawerera ddala amakumi abiri gabamyuuse oluvanyuma lw’omulamuzi okukabatema nti bakusasula emitwalo 45 buli omu olw’ekutembeeyeza ebintu ku nguudo mu bukyaamu.
Bano nga bakulembeddwamu Barbara Zalwango basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Erias Kakooza ku City Hall .
Balina okusasula ensimbi zino oba okusibwa emyezi mukaaga
Bano baakwatibwa okuva ku nguudo z’enjawulo mu Kampala wakati wa 17th and 19th omwezi guno.
Kigambibwa nti babadde batunda ebintu byanjawulo omuli obutungulu, enyannya, Nsenene wamu n’emiyembe.