Amawulire
Omupakasi asobezza ku muwala wa mukamawe
Poliisi ku kyalo Kyabi mu disitulikiti ye Ssembabule ekutte omupakasi asobezza ku muwala wa mukamawe.
Omupakasi ono wa myaka 30 era asobezza ku wa myaka 10.
Kigambibwa nti ssedduvuutu ono y’alabiriza bazadde b’omwana nga tebaliiwo n’amweganzikako.
Bazadde b’omwana ono okulabuka basoose kulaba mwanawaabwe nga alumizibwa bw’aba atambula kwekumubuuza ogwabadde n’akabatema nti omupakasi yamutunuza mu mbuga ya sitani.
Kino kyajje abazadde mu mbeera nebekubira omulanga ku poliisi eyasitukiddemu n’ekwata omupakasi ono.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoj ategezezza nga ono bwagenda okutwalibwa akeberebwe siriimu balabe oba omwana teyasigiddwa kirwadde kino.