Amawulire

Teri kutunda nyanja- bannabutonde baboggodde

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

water body

Enteekateeka za gavumenti okutundako ekitundu kye Nyanja Nalubaale eri bamusiga nsigo zijjeemu bannakyeewa omwaasi.

Minisita omubeezi akola ku by’obuvubi, Ruth Nankabiriwa yakakasizza nti bamalirizza enteekateeka z’okutundako enyanja okuleeta ensimbi mu ggwanika ly’eggwanga

Nankabirwa agamba nti omugagga yenna anatwala enyanja wakuyiiya by’ayinza okukolerako omuli okulimira mu biyumba, okutandika olubalama lw’enyanja oba okutumbula eby’obulambuzi.

Akulira ekibiina ekigatta abalwanirira obutonde bw’ensi Frank Muramuzi agamba nti kikyaamu okutunuulira obutonde mu ngeri y’ensimbi kubanga buyinza okwonoonebwa, eggwanga lyonna nerifiirwa