Amawulire

Ttiyagaasi ku ssaawa ya kwiini

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

teargas

Poliisi ekubye omukka ogubalala mu bagoba ba taxi ababadde baggye emmotoka zaabwe okuva mu paaka ya USAFI okuzizza ku siteegi ya Kisansa.

Abakoseddwa bebakwata olw’eMuyenga ne Kabalagala abakedde okuggya emmotoka zaabwe mu USAFI nga bekwaasa  balabidde ku banaabwe abe Gaba nabo abazzeeyo mu paaka yaabwe

Mu ngeri yeemu, ba dereeva bano bagamba nti tebakola ssente mu USAFI kubanga abantu bagyesamba.

Wabula poliisi nga eri wamu n’abakwasisa amateeka aba KCCA babatwalaganyizza nga ne nabugi ssimufundikire.